2 Kings 18:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obukodyo n'amaanyi eby'okulwana by'olowooza nti obirina, ebyo bigambo bugambo bya ku mumwa. Weesiga ani okuguma n'onjeemera?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olowooza nti ebigambo obugambo, kakoddyo akalaga amaanyi n’obuvumu mu kulwana? Ani gwe weesiga, n’okujeema n’onjeemera?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyogera bigambo bugambo bya kamwa. Olina amagezi n'amaanyi ag'okulwana. Ani nno gwe weesiga n'okujeema n'onjeemera?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwogera obwogezi kwe kunadda mu kifo ky'amagezi n'amaanyi ag'okulwana olutalo? Ani kale gwe weesiga n'okutuuka n'okunjeemera?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyogera, naye bigambo bya mu kamwa bumwa, nti Waliwo amagezi n'amaanyi ag'okulwana: Ani nno gwe weesiga n'okujeema n'onjeemera?