2 Kings 18:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Osobola otya okuwangula yadde omugabe asingayo obutene mu baweereza ba mukama wange abasembayo, newandibadde nga weeyinula Misiri olw'ebigaali n'abeebagazi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onooyinza otya okuwangula omu ku baserikale ba mukama wange asembayo, bw’onooba nga weesiga amagaali n’abeebagala embalaasi ab’e Misiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyinza ggwe okwaŋŋanga omu kuffe asembayo obuto mu ggye lya mukama wange nga weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe atasobola kwaŋŋanga wadde omu ku bakungu asembayo obuto mu ggye lya mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale onooyinza otya okukyusa amaaso g'omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi.