2 Kings 18:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliyakimu mutabani wa Kilukiya, Sebuna ne Yowa ne bagamba omusenero omukulu nti: “Tukwegayiridde, yogera n'abaweereza bo mu Lwarami, kasita tulutegeera; toyogera naffe mu Luyudaaya ng'abantu abali ku bbugwe bawulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera eri abaddu bo mu lulimi Olusuuli, kubanga tulutegeera. Toyogera naffe mu lulimi olw’Abayudaaya ng’abantu bonna abali ku bbugwe bawuliriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna ne Yowa, ne bagamba omukungu Omwasuuli nti Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi olusuuli kubanga tulutegeera, naye toyogera naffe mu Lwebbulaniya ng'abantu abali ku kisenge bawulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya, ne Sebuna, ne Yoowa, ne bagamba omukungu Omussiriya nti: “Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi Olwaramayika, kubanga tulutegeera, naye toyogera naffe mu Lwebureeyi ng'abantu abali ku kisenge bawulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulutegeera: so toyogera naffe mu lulimi olw'Abayudaaya mu matu g'abantu abali ku bbugwe.