2 Kings 18:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusenero omukulu n'abaanukula nti: “Olowooza mukama wange yantumye njogere ebigambo bino eri mukama wo n'eri ggwe wekka? Teyantumye n'eri abasajja abatudde waggulu ku bbugwe, okufaanana nga ggwe aboolekedde okulya obubi bwabwe n'okunywa omusulo gwabwe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Labusake n’abaddamu nti, “Mulowooza nti mukama wange yantuma eri mukama wammwe n’eri mmwe okwogera ebigambo bino, so si eri abasajja abatudde ku bbugwe, abali mu kabi nammwe kubanga okufaanana nga mmwe bagenda kulya empitambi yaabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukungu Omwasuli n'addamu nti Mulowooza nga mukama wange yantuma kubuulira mukama wammwe nammwe mwekka ebigambo bino? Yantuma kubuulira n'abasajja abatuula ku ntikko y'ekigo, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukungu Omussiriya n'addamu nti: “Mulowooza nga mukama wange yantuma kubuulira mukama wammwe nammwe mwekka ebigambo bino? Yantuma kubuulira n'abasajja abatuula ku ntikko y'ekigo, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Labusake n'abagamba nti Mukama wange yantumira mukama wo naawe okwogera ebigambo bino? tantumidde basajja abatuula ku bbugwe, okulya amazi gaabwe bo n'okunywera enkali yaabwe bo wamu nammwe?