2 Kings 18:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusenero omukulu n'ayimirira, n'aleekaana n'eddoboozi eddene mu Luyudaaya n'agamba nti: “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka wa Assuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Labusake n’ayimirira n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukungu oyo n'ayimirira, n'alangirira mu lulimu olw'Ebbulaniya n'eddoboozi ery'omwanguka nti Muwulire kabaka omukulu owa Bwasuli ky'abagamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukungu oyo n'ayimirira, n'alangirira mu lulimi lw'Abayudaaya n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Muwulire kabaka omukulu kabaka wa Assiriya ky'abagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu kabaka w'e Bwasuli.