2 Kings 18:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kuwuliriza Kezekiya.’ Kabaka wa Assuri kino ky'agamba: ‘Mukkaanye, muveeyo mujje gye ndi; olwo buli omu ajja kulya ku muzabbibu gwe ne ku mukunyu gwe, anywe amazzi ng'agaggya mu luzzi lwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Temuwuliriza Keezeekiya. Bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mujje gye ndi, buli omu ku mmwe anywe okuva mu muzabbibu ggwe, buli muntu ku mutiini gwe, na buli muntu anywe amazzi ag’omu kidiba kye ye;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga kabaka wa Bwasuli agamba nti Mutabagane nange, mufulume mweweeyo gye ndi. Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye, n'eby'emitiini gye, era munnanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuwuliriza Heezeekiya, kubanga kabaka wa Assiriya agamba nti: ‘Mutabagane nange, mufulume mweweeyo gye ndi.’ Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye, n'eby'emitiini gye, era munaanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temuwulirizanga Keezeekiya: kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti Mutabagane nange mufulume gye ndi; ne mulya buli muntu ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, ne munywa buli muntu amazzi ag'omu kidiba kye ye;