2 Kings 18:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okutuusa lwe najja ne mbaggyawo ne mbatwala mu nsi efaanana n'eyammwe; ensi ey'eŋŋano n'evviini; ensi ey'emigaati n'ennimiro z'emizabbibu; ensi ey'omuzigo gwa oliva n'omubisi gw'enjuki; mulondeewo obulamu, olwo temuufe. Muleke kuwuliriza Kezekiya oyo abalimbalimba ng'agamba nti: “Omukama anaatulokola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano n’omwenge omusu, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu, ensi ey’amafuta aga zeyituuni n’omubisi gw’enjuki, mube balamu muleme okufa.’ “Temuwuliriza Keezeekiya kubanga abawabya bw’agamba nti, ‘ Mukama alibalokola.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku ez'emizabbibu, ensi ey'amafuta aga Zeyituuni n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme okufa: so temuwuliriza Keezeekiya bw'abasendasenda ng'abagamba nti Mukama alitulokola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi erimu eŋŋaano n'omwenge, ensi erimu emigaati n'ennimiro z'emizabbibu, ensi erimu omuzigo gw'emizayiti n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme kufa. Naye temuwuliriza Heezeekiya abaguyaaguya ng'agamba nti: ‘Mukama ajja kutuwonya!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku ez'emizabbibu, ensi ey'amafuta aga zeyituuni n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme okufa: so temuwulirizanga Keezeekiya bw'alibasendasenda ng'ayogera nti Mukama alitulokola.