2 Kings 18:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balubaale b'e Kamati ne Arupadi bali ludda wa? Balubaale b'e Sefaruvayimu, Ena ne Yivva bali ludda wa? Balubaale b'omu Samariya bali ludda wa? Samariya baakiwonya mu mikono gyange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n’ab’e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab’e Kena n’ab’e Yiva? Baali balokodde Samaliya mu mukono gwange?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bali ludda wa bakatonda b'e Kamasi n'ab'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda b'e Sefavayimu, ab'e Keena, n'ab'e Yiva? Baalokola Samaliya mu mukono gwange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bali ludda wa balubaale b'e Hamati ne Arupaadi? Bali ludda wa balubaale b'e Sefarivayimu, wadde ab'e Hena, n'ab'e Yivva? Baawonya Samariya ne bakiggya mu mikono gyange?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n'ab'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab'e Kena, n'ab'e Yiva? Baalokola Samaliya mu mukono gwange?