2 Kings 18:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baluwa balubaale b'ensi eno abaali baggye ensi yaabwe mu mikono gyange? Olwo nno n'Omukama lw'anaggya Yeruzaalemu mu mikono gyange?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ku bakatonda abo bonna ab’ensi ezo eyali alokodde ensi ye mu mukono gwange, mulyoke mulowooze nti Mukama alirokola Yerusaalemi mu mukono gwange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baani ku bakatonda bonna ab'ensi abaalokola ensi yaabwe mu mukono gwange, olwo Mukama alyoke alokole Yerusaalemi mu mukono gwange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baani ku balubaale bonna ab'ensi abaali bawonyezza ensi yaabwe okugiggya mu mikono gyange, Mukama alyoke asobole okuwonya Yerusaalemu akiggye mu mikono gyange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baani ku bakatonda bonna ab'ensi abaalokola ensi yaabwe mu mukono gwange, Mukama alokole Yerusaalemi mu mukono gwange?