2 Kings 18:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliyakimu mutabani wa Kilukiya katikkiro w'olubiri, Sebuna omuwandiisi ne Yowa akuuma ebyafaayo, mutabani wa Asafu, ne bagenda ewa Kezekiya ng'ebyambalo babiyuzizza, ne bamubuulira omusenero omukulu by'agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamutegeeza ebigambo Labusake bye yali ayogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriyakimu eyali omukulu w'olubiri ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu eyakuumanga ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebigambo byonna Labusake bye yayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya era eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoowa mutabani wa Asafu era eyali omukuumi w'ebiwandiiko ebitongole, ne bajja eri Heezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne bamubuulira ebigambo omukungu wa Assiriya by'ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.