2 Kings 18:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamalawo ebifo ebigulumivu, n'ayasaayasa amayinja amawonge, n'atemawo empagi za Asera. N'ayasaayasa omusota ogw'ekikomo Musa gwe yali akoze; n'okutuusa olwo abantu ba Yisirayeli baali bakyagunyookeza obubaani; gwayitibwanga Nekusutani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aggyawo ebifo ebigulumivu n’amenyaamenya amayinja amoole, n’atema n’empagi eza Baasera. N’amenyaamenya omusota ogw’ekikomo Musa gwe yakola, kubanga ne mu biro ebyo Abayisirayiri baagwoterezangako obubaane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yaggyawo ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n'atemera ddala Baasera: n'amenyamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola; kubanga okutuusa mu kiseera ekyo abaana ba Isiraeri bali bakyagwoterereza obubaane; naye Keezeekiya n'aguyita Kikomo bukomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aggyawo ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, n'ayasaayasa empagi ez'amayinja, n'amenyaamenya ebifaananyi bya lubaale omukazi Asera. N'amenyaamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola, kubanga n'okutuusa mu biro ebyo, Abayisirayeli baali bagunyookeza obubaane. N'aguyita kikomo bukomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yaggyawo ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n'atemera ddala Baasera: n'amenyamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola; kubanga okutuusa mu biro ebyo abaana ba Isiraeri nga bagwoterereza obubaane; n'aguyita nti Kikomo bukomo.