2 Kings 18:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yali naye; yalinanga omukisa mu byonna bye yassangako engalo. Yajeemera kabaka wa Assuri n'atamuweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’abeera wamu naye, era n’abeera n’omukisa mu buli kye yakolanga. N’agyemera kabaka w’e Bwasuli, n’agaana okumuweereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'abanga naye; buli gye yagendanga yonna n'afunanga omukisa: n'ajeemera kabaka w'e Bwasuli n'atamuweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abeeranga naye, n'abanga wa mukisa mu byonna bye yakolanga. N'ajeemera kabaka wa Assiriya, n'agaana okumugonderanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'abanga naye; buli gye yafulumanga yonna n'alabanga omukisa: n'ajeemera kabaka w'e Bwasuli n'atamuweereza.