2 Kings 18:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yawangula Abafilisitiini, n'abasindiikiriza okutuuka e Gaza, ekitundu kyabwe n'akireka matongo okuva ku munaala ogw'abakuumi okutuuka ku kibuga okuli ekigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awangula Abafirisuuti, mu buli kigo na buli kibuga ekyaliko bbugwe, okuva e Gaza n’okutuuka ku nsalo zaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akuba Abafirisuuti okubatuusa e Gaza n'ebitundu ebikyetoolodde; n'awamba ekigo eky'omukuumi n'ebibuga ebiriko bbugwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'awangula Abafilistiya okubatuusa e Gaaza n'ebitundu ebikyetoolodde nga mw'otwalidde ebibuga ebinene n'ebitono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akuba Abafirisuuti okubatuusa e Gaza n'ensalo zaakyo, ekigo eky'omukuumi era n'ekibuga ekiriko enkomera.