2 Kings 18:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwokuna ogwa kabaka Kezekiya, gwe gwali omwaka ogwomusanvu ogwa Ozeya mutabani wa Ela kabaka wa Yisirayeli, Salumaneeseri kabaka wa Assuri n'alumba Samariya n'akizinda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era, kabaka wa Isirayiri, Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba Samaliya n’akizingiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogwa kabaka Keezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'alumba Samaliya n'akizingiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokuna ogw'obufuzi bwa Heezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu nga Hoseya mutabani wa Ela ye kabaka wa Yisirayeli, Salumaneseri kabaka wa Assiriya n'alumba Ekibuga Samariya, n'akizingiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Keezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'atabaala Samaliya n'kizingiza.