2 Kings 19:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Kezekiya olwabiwulira, n'ayuza ebyambalo bye, n'ayambala ekikutiya n'ayingira mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza ebyambalo bye ne yeesiiga evvu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Heezeekiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'ayambala ebikutiya, n'ayingira mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza ebyambalo bye ne yeesiiga evvu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama.