2 Kings 19:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe wennyini weewulirira bakabaka ba Assuri bye baakola ensi zonna, nga bwe baazisaanyaawo. Ggwe onoowona?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wawulira bakabaka b'e Bwasuli bye baakola ensi zonna nga bazizikiririza ddala, ggwe oliwona?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndowooza wawulira bakabaka b'e Assiriya kye baakola ensi zonna, ze baasalawo okuzikiririza ddala. Ggwe onoowona?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, wawulira bakabaka b'e Bwasuli bye baakola ensi zonna nga bazizikiririza ddala, naawe olirokoka?