2 Kings 19:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'aggya ebbaluwa eyo mu mikono gy'ababaka, n'agisoma, n'ayambuka mu Kiggwa ky'Omukama, n'agyanjululiza mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'atoola ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: awo Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'agyanjuliriza mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya n'aggya ebbaluwa ku babaka, n'agisoma. N'ayambuka mu Ssinzizo, n'agyanjuluza mu maaso ga Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'atoola ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: awo Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'agyanjuluza mu maaso ga Mukama.