2 Kings 19:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya ne yeegayirira mu maaso g'Omukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli awaŋŋamye wakati mu bakerubi, wekka ggwe Katonda afuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe wakola eggulu n'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'asaba mu maaso ga Mukama n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, ow'obwakabaka bwonna obw'ensi; ggwe wakola eggulu n'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'asaba Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, atuula ku bakerubi, Ggwe Katonda wekka. Ggwe wekka Ggwe ofuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe watonda eggulu n'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'asaba mu maaso ga Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, ow'obwakabaka bwonna obw'ensi; ggwe wakola eggulu n'ensi.