2 Kings 19:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balubaale baabwe baabasuula mu muliro ne babengeya, kubanga anti tebaali balubaale, wabula biti na mayinja, abantu obuntu bye baakola n'emikono gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era baasuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga bakatonda naye baali mulimu gwa mikono gy'abantu, emiti n'amayinja; kyebaava basobola okubazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baayokya balubaale baago, ddala abatali Katonda, wabula ebifaananyi eby'emiti n'eby'amayinja, abantu bye baakola n'emikono gyabwe, kyebaava babazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era baasuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda naye mulimu gwa mikono gya bantu, emiti n'amayinja; kyebaava babazikiriza.