2 Kings 19:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'asindika ewa Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi, Eliyakimu katikkiro w'olubiri ne Sebuna omuwandiisi na bonna abakulembera mu bakabona, nga bambadde ebikutiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'olubiri, ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona nga bambadde ebibukutu eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atuma Eliyakimu eyali alabirira olubiri lwa kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, n'abamu ku bakabona abakulu, eri Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuma Eriyakimu eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona nga bambadde ebibukutu eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.