2 Kings 19:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya mutabani wa Amozi n'aweereza Kezekiya obubaka ng'agamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Essaala gy'osabye gye ndi ku lwa Sennakeribu kabaka wa Assuri ngiwulidde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga onsabye olwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, nkuwulidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaya mutabani wa Amozi n'atumira Heezeekiya ng'agamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Mpulidde by'onsabye ebikwata ku Sennakeribu kabaka wa Assiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga onsabye olwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, nkuwulidde.