2 Kings 19:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyise mu baweereza bo n'ovuma Omukama. N'ogamba nti: “N'enkumuliitu y'ebigaali byange mpalampye entikko z'ensozi, mu masosso ga Lebanoni. Natema entolookyo zaakwo empagguufu, ne sipulaasi waakwo omulungi. Nakyesonseka okutuuka gye kikoma, eyo ekibira gye kibisse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojereze Mukama ng’oyita mu babaka bo. Era ogambye nti, “Nninye ku ntikko z’ensozi n’amagaali gange amangi, ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni. Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu n’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi. Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Otumye ababaka bo okunneewaanirako nga bwe wakozesa amagaali go, n'owangula entikko z'ensozi z'e Lebanooni. Weewaanye nti eyo watemayo emivule egisinga obuwanvu, n'emiberosi egisinga obulungi, era nti wasenserera ddala mu bitundu by'ebibira ebisingayo okuba ebikwafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Otumye ababaka bo okunneewaanirako nga bwe wakozesa amagaali go, n'owangula entikko z'ensozi z'e Lebanooni. Weewaanye nti eyo watemayo emivule egisinga obuwanvu, n'emiberosi egisinga obulungi, era nti wasenserera ddala mu bitundu by'ebibira ebisingayo okuba ebikwafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ovumidde Mukama mu babaka bo n'oyogera nti Nninnye ku ntiko y'ensozi n'olufulube lw'amagaali gange, ku njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditema emivule gyako emiwanvu n'emiberosi gyako egisinga obulungi: era ndiyingira mu kisulo kyako ekikomereddeyo, mu kibira eky'ennimiro yaako engimu.