2 Kings 19:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nasima enzizi ne nnywa amazzi ag'omu nsi engwira; n'ebigere byange ne nkaza emigga gyonna egy'e Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nsimye enzizi mu bannamawanga, n’enywa amazzi gaamu. Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna, nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaanye nti Nsimye enzizi, nnywedde amazzi ag'abannamawanga, era ebigere by'abaserikale bange bikkalizza emigga gyonna egy'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weetenze bwe wasima enzizi, n'onywa amazzi mu nsi ez'ebunaayira, era nti ebigere by'abaserikale bo byakaza emigga gyonna egy'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nsimye, nnywedde amazzi ag'abannaggwanga, era ndikaza n'ebigere byange emigga gyonna egy'e Misiri: