2 Kings 19:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Towuliranga nti nakitegeka kuva dda? Obwedda n'obwedda nga nkitegeka. Kati nkituukirizza: Nti ojja kuzikiriza ebibuga okuli ebigo bifuuke ntuumu za mayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Tewawulira nga nakisalawo dda? Mu biro eby’edda nakiteekateeka, era kaakano nkituukirizza, olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe okuba ng’entuumo y’amayinja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewakiwulirako nti nze n'ategeka ebyo byonna edda? Era kaakano mbituukirizza. Nakuwa ebibuga ebiriko buggwe okubifuula amatongo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Tewakiwulirako nti nze nategeka ebyo byonna edda? Era kaakano mbituukirizza. Nakuwa obuyinza, ebibuga ebiriko ebigo ebigumu okubifuula entuumu z'ebisasiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewawulira bwe nnakikola edda, ne nkibumba okuva mu biro eby'edda? kaakano nkituukirizza obeere wa kuzikiriza bibuga ebiriko enkomera n'obifuula ebifunvu eby'amatongo.