2 Kings 19:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababibeeramu obuyinza bubawedde; batekemuse, baswadde. Bafuuse ng'omuddo gw'ettale, ng'omuddo ogwakamera, ng'essubi ly'oku kasolya, erikala nga terinnakula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababituulamu tebakyalina buyinza, batekemuse era baswazibbwa. Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro, ng’omuddo omubisi, ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba, ne gutugibwa nga tegunnakula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaabirimu kyebaava baggwaamu amaanyi, ne batekemuka, ne bakeŋŋentererwa, ne baba ng'essubi ery'omu ttale, era ng'omuddo ogumeze waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaabirimu kyebaava baggwaamu amaanyi, ne batekemuka, ne bakeŋŋentererwa, ne baba ng'essubi ery'omu ttale, era ng'omuddo ogumeze waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ababituulamu kyebava babeera n'amaanyi amatono, ne batekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu ttale era ng'omuddo omubisi, ng'essubi eriri waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.