2 Kings 19:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera obusungu bw'onninako, nga n'okwekuza kwo kutuuse mu matu gange, kale nno nzija kussa empeta mu nnyindo zo n'eddobo mu kamwa ko, nkuddizzeeyo mu kkubo mwe wafuluma ng'ojja.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ondaze obuswandi bwo, n’obujoozi bwo ne mbuwulira mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n’olukoba lwange mu mumwa gwo, era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ondalukira era kubanga essukuti lyo lirinnye mu matu gange, kaakano nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo, n'olukoba lwange mu kamwa ko, nkuddizeeyo mu kkubo lye wayitamu ng'ojja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmaze okuwulira eddalu lyo, n'okwekulumbaza kwo. Kaakano nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo, n'olukoba lwange mu kamwa ko, nkuddizeeyo mu kkubo lye wayitamu ng'ojja.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ondalukira era kubanga essukuti lyo lirinnye mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo zo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, ne nkuddizaayo mu kkubo lye wafulumamu.