2 Kings 19:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kati ggwe, Kezekiya, kano ke kabonero kw'onoolabira: “Mu mwaka guno ojja kulya ebyemeza byokka; mu mwaka ogwokubiri olye ebimererezi. Naye mu gwokusatu musige, mukungule, musimbe emizabbibu, mulye ebibala byakwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya. “Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo. Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule; era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isaaya n'agamba kabaka Keezeekiya nti Kano ke kanaaba akabonero akakulaga ebinaabaawo: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogwokubiri ekyo ekikivaamu okuloka; ne mu mwaka ogwokusatu musige mukungule musimbe ensuku ez'emizabbibu mulye ku bibala byamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaya n'agamba Kabaka Heezeekiya nti: “Kano ke kanaaba akabonero akakulaga ebinaabaawo: mu mwaka guno, ne mu mwaka ogujja, mujja kulya mmere ya kyemeza. Naye mu mwaka oguddako, mulisiga emmere yammwe ne mugikungula. Mulisimba ennimiro z'emizabbibu, ne mulya ebibala byamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kano ke kanaaba akabonero gy'oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw'okubiri ekyo ekikivaamu okuloka; ne mu mwaka ogw'okusatu musige mukungule musimbe ensuku ez'emizabbibu mulye ku bibala byamu.