2 Kings 19:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Kezekiya kino ky'agamba: ‘Luno olunaku lwa buyinike, lwa kugugumbulwa, lwa nsonyi ng'abaana abatuuse ku kuzaalibwa naye nga temuli twanyi tubazaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba Isaaya nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lwa buyinike era lwa kunenyezebwa nakuvumibwa: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa, so tewali maanyi ga kuzaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamugamba nti: “Heezeekiya agamba nti: ‘Olunaku luno, lunaku lwa kubonaabona. Tubonerezeddwa era tuswaziddwa. Tuli ng'omukazi atuusizza okuzaala, sso nga talina maanyi ga kuzaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa buyinike era lwa kunenyezebwa era lwa kuvumibwa: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa, so tewali maanyi ga kuzaala.