2 Kings 19:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kaawonawo asumattuse mu nnyumba ya Yuda alisimba emirandira wansi, n'assaako ebibala waggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayiri kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emizi wansi ne babala ebibala waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaliwonawo mu Buyudaaya, balyanya ng'ebimera ebisimba emirandira gyabyo wansi mu ttaka, ne bibala ebibala waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emizi wansi ne babala ebibala waggulu.