2 Kings 19:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno Omukama kino ky'ayogera ku kabaka wa Assuri: “ ‘Tajja kuyingira kibuga kino, yadde okukirasaamu akasaale. Talikisemberera ng'akutte engabo, yadde okukituumako embibiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti, “ ‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino, wadde okulasayo akasaale. Talikisemberera n’engabo newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talikirasako kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumako ntuumo za ttaka okukyetooloola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bino Mukama by'agamba ku kabaka wa Assiriya: ‘Tajja kuyingira mu kibuga kino, wadde okulasaayo akasaale. Tajja kukirumba na ngabo, wadde okutuuma entuumu z'ettaka okukyetooloola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumako kifunvu.