2 Kings 19:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kiro ekyo kyennyini, malayika w'Omukama yagenda mu lusiisira lw'Abassuri n'attamu abasajja akasiriivu kamu mu emitwalo munaana mu enkumi ttaano. Abantu bwe baazuukuka ku makya, bonna nga mirambo, bafu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agenda n'atta mu lusiisira lw'Abasuuli abasserikale emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano (185,000). Enkeera ku makya abo bonna nga bafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agenda n'atta mu lusiisira lw'Abassiriya abaserikale emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Enkeera ku makya, abo bonna nga bafu ba jjo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ekiro ekyo malayika wa Mukama n'afuluma n’atta mu lusiisira olw'Abasuuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano: abantu bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, bonna baali mirambo gya bafu.