2 Kings 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oboolyawo Omukama Katonda wo awulidde ebigambo byonna eby'omusenero omukulu, mukama we kabaka wa Assuri gw'atumye okuvuma Katonda omulamu. Oboolyawo ng'Omukama Katonda wo anaabonereza ebigambo by'awulidde. Kale nno sabira kaawonawo akyasigaddewo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo byonna ebya Labusake kabaka w'e Bwasuli mukama we gwe yatuma okuvuma Katonda omulamu, alyoke amukangavvule olw'ebigambo ebyo Mukama Katonda by'awulidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Assiriya atumye omukungu we omukulu okujerega Katonda Nnannyinibulamu. Oboolyawo Mukama, Katonda wo, anassaayo omwoyo ku bigambo byonna omukungu oyo by'ayogedde, n'amukangavvula olw'ebigambo ebyo, Ye Mukama Katonda by'awulidde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo byonna ebya Labusake kabaka w'e Bwasuli mukama we gwe yatuma okuvuma Katonda omulamu, era n'anenya ebigambo Mukama Katonda wo by'awulidde: kale yimusa okusaba kwo ku lwabo abasigadde.