2 Kings 19:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya n'abagamba nti: “Kino kye munaagamba mukama wammwe: ‘Omukama kino ky'agamba: Leka kutya bigambo by'owulidde, ebyo obulenzi bwa kabaka wa Assuri bye bunvumye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe muba mugamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde abaddu ba kabaka w'e Bwasuli kye banzivvoodde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaya n'abagamba bagende bagambe mukama waabwe nti: Mugende mugambe mukama wammwe nti: “Mukama agamba nti: ‘Totya bigambo by'owulidde, abakungu ba kabaka w'e Assiriya bye boogedde nga banzivoola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe muba mugamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde abaddu ba kabaka w'e Bwasuli kye banzivodde.