2 Kings 19:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, nzija kumussaamu omwoyo, nti olunaawulira olugambo, ng'addayo mu nsi ye, eyo gye nnaamukubira n'ekitala.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, n'ateeka omwoyo mu ye, bw'anaawulira olugambo n'addayo mu nsi ye, nange ndimuzikiririza mu nsi ye n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba, nja kumukyusa omutima. Ajja kuwulira olugambo, addeyo mu nsi ye, era Nze nja kumuleetera okuttirwayo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, naateeka omwoyo mu ye, kale anaawulira ekigambo n'addayo mu nsi ye; nange ndimugwisa n'ekitala mu nsi ye ye.