2 Kings 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusenero omukulu n'addayo, kubanga yali awulidde nga kabaka wa Assuri yali avuddeyo mu Lakisi; yasanga kabaka wa Assuri alumbye Libuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'avudde e Lakisi nga alwanyisa ab'e Libuna, n'agenda gyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukungu oyo Omussiriya n'awulira nga kabaka w'ewaabwe avudde e Lakisi, era ng'alwanyisa ab'omu Kibuga Libuna, n'agenda gy'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde ng'avudde ku Lakisi.