2 Kings 19:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sennakeribu yali awulidde nti: “Tiruwaka kabaka w'e Kuusi asitudde, ajja okukutabaala,” n'addamu n'asindika ababaka ewa Kezekiya ng'abagambye nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'e Bwasuli bwe yawulira nga boogera nti Tiraka, kabaka w'e Esiyoopya amulumbye okumulwanyisa n'atumira Keezeekiya ababaka nate nga amugamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Assiriya bwe baamubuulira nti: “Tiraka kabaka w'e Etiyopiya wuuli asitudde eggye okukulwanyisa,” n'addamu okutumira Heezeekiya ng'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yawulira nga boogera ku Tiraka kabaka w'e Esiyoopya nti Laba, atabadde okulwana naawe: n'atumira nate Keezeekiya ababaka ng'ayogera nti