2 Kings 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bwe yali ali kumpi okutwala Eliya mu ggulu mu mpewo ey'akazimu, Eliya ne Elisa baali batambula bombi nga bava e Gilugali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekiseera bwe kyatuuka Mukama okutwala Eriya mu ggulu, ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu, Eriya ne Erisa ne bava e Girugaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekiseera bwe kyatuuka Mukama okutwala Eliya mu ggulu, ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu, Eliya ne Elisa ne bava e Gilugaali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Mukama bwe yayagala okulinnyisa Eriya n'embuyaga ez'omuzimu mu ggulu, Eriya n'agenda ne Erisa ng'ava e Girugaali.