2 Kings 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ayanukula nti: “Osabye ekintu ekizibu, naye bw'onooba ondabye nga nkuggyibwako, onookifuna ky'osabye; naye bw'otondabe, nga tookifune.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriya n'agamba nti Ky'osabye kizibu. Naye bw'onondaba nga nkuggibwako, ng'okifunye. Naye bw'otondabe, olwo nga tokifunye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya n'agamba nti: “Ky'osabye kizibu. Naye bw'onondaba nga nkuggyibwako, ng'okifunye. Naye bw'otondabe, olwo nga tokifunye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Osabye kizibu: naye bw'onondaba bwe nnaakuggibwako kinaaba bwe kityo gy'oli; naye bw'otondabe tekiibe bwe kityo.