2 Kings 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baba bagenda batambula nga banyumya, ekigaali ky'omuliro okuli embalaasi ez'omuliro ne kibaawukanya, Eliya n'ayambuka mu ggulu mu mpewo ey'akazimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka nga bakyatambula nga balojja, laba ne walabika eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n'atwalibwa mu ggulu embuyaga ezakazimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali batambula nga banyumya, amangwago ne wajjawo eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne bibaawulamu bombi, Eliya n'atwalibwa mu ggulu ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka nga bakyatambula nga boogera, laba, ne walabika eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n'alinnya mu ggulu n'embuyaga ez'omuzimu.