2 Kings 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa bwe yakiraba, n'aleekaana nti: “Kitange! Kitange! Ebigaali bya Yisirayeli n'abeebagazi!” Teyaddayo kumulaba. Awo n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu wabiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'akiraba, n'agamba nti Kitange, kitange, gwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Isiraeri, ogenze! N'ataddamu kumulaba. N'atambula nate: n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'akiraba, n'agamba nti: “Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Yisirayeli, ogenze!” N'ataddamu kumulaba. Elisa n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri olw'okunakuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Erisa n'akiraba n'ayogerera waggulu nti Kitange, kitange, amagaali ga Isiraeri n'embalaasi ze! N'atambula nate: n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri.