2 Kings 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akwata omunagiro ogwali gugudde ku Eliya, n'akuba amazzi nga bw'agamba nti: “Kati Omukama Katonda wa Eliya ali ludda wa?” N'akuba ku mazzi, ne geetemamu eno n'eri; Elisa n'asomoka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addira ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'akuba amazzi n'ayogera nti Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya? Awo ng'amaze okukuba amazzi, ne geyawulaamu wabiri: Erisa n'asomoka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akozesa omunagiro gwa Eliya okukuba ku mazzi ng'agamba nti: “Mukama, Katonda wa Eliya aluwa? Yee ddala aluwa?” Bwe yakuba ku mazzi, ne geeyawulamu wabiri erudda n'erudda, Elisa n'asomoka emitala w'eri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addira ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'akuba amazzi n'ayogera nti Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya? awo ng'amaze okukuba amazzi naye, ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi: Erisa n'asomoka.