2 Kings 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannakibiina ky'abalanzi b'omu Yeriko abaali balengera, bwe baalaba ne bagamba nti: “Omwoyo gwa Eliya gusse ku Elisa.” Ne bajja okumusisinkana, ne bamuvunnamira ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko okumwolekera bwe baamulaba, ne boogera nti Omwoyo gwa Eriya guzze ku Erisa. Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Yeriko bwe baamulaba, ne bagamba nti: “Obuyinza bwa Eliya buli ku Elisa.” Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko okumwolekera bwe baamulaba, ne boogera nti Omwoyo gwa Eriya gutuula ku Erisa. Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge.