2 Kings 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Wano ffe abaweereza bo tulinawo abasajja abeesobola amakumi ataano. Bano bagende banoonye mukama wo, sikulwa ng'omwoyo gw'Omukama gwamututte ne gumuwummuza ku lumu mu nsozi oba mu kimu ku biwonvu.” N'abagamba nti: “Temubasindika.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.” Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bamugamba nti Laba nno waliwo abasajja ataano (50) ab'amaanyi wamu n'abaddu bo; tukwegayiridde bagende banoonye mukama wo: mpozzi omwoyo gwa Mukama gumusitudde ne gumusuula ku lusozi oba mu kiwonvu. N'abaddamu nti Temugenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bamugamba nti: “Tulina wano abasajja amakumi ataano ab'amaanyi, abaweereza bo. Tukwegayiridde bakkirize bagende banoonye mukama wo, oboolyawo Mwoyo wa Mukama yamusitudde n'amuteeka ku lusozi oba mu kiwonvu.” Elisa n'abaddamu nti: “Nedda. Temubatuma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamugamba nti Laba nno waliwo abasajja amakumi ataano ab'amaanyi wamu n'abaddu bo; tukwegayiridde bagende banoonye mukama wo: mpozzi omwoyo gwa Mukama gumusitudde ne gumusuula ku lusozi oba mu kiwonvu; N'ayogera nti Temutuma.