2 Kings 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamusindirira okutuusa ng'asobeddwa, n'agamba nti: “Mubasindike.” Ne batuma abasajja amakumi ataano, ne bamunoonyeza ennaku ssatu, ne batamuzuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe baamuwaliriza, n’atendewalirwa, n’abagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamwetayirira, ensonyi ne zimukwata, n'agamba nti Kale mugende. Awo ne batuma abasajja ataano (50); ne banoonyeza ennaku ssatu naye ne batamulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bongera okumwegayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata n'agamba nti: “Kale mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonyeza Eliya ennaku ssatu, kyokka ne batamulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamutayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata, n'ayogera nti Mutume. Awo ne batuma abasajja amakumi ataano; ne banoonyeza ennaku ssatu naye ne batamulaba.