2 Kings 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'ekibuga ne bagamba Elisa nti: “Ekibuga kino kiri walungi nga naawe bw'olaba, ssebo, naye kyokka amazzi mabi n'ettaka teribaza bintu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Erisa nti Laba, tukwegayiridde, awali ekibuga kino walungi nga mukama wange bw'alaba: naye amazzi gaawo mabi, n'ettaka terikuza mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja abamu ab'omu kibuga Yeriko ne basemberera Elisa, ne bamugamba nti: “Ssebo, wano awali ekibuga kino walungi, naawe nga bw'olaba. Naye amazzi gaawo mabi, n'ettaka terikuza mmere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Erisa nti Laba, tukwegayiridde, awali ekibuga kino walungi nga mukama wange bw'alaba: naye amazzi tegaliiko kye gagasa, n'ensi tekuza mmere.