2 Kings 2:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'afuluma n'alaga ku nsulo y'amazzi, n'ayiwamu omunnyo, n'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Nnongoosezza amazzi gano; n'okuva kati tegakyaddayo kuleeta kufa oba butabaza bintu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'afuluma n'ajja awali ensulo y'amazzi, n'asuula omwo omunnyo n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mponyezza amazzi gano; temukyavaamu nate lumbe newakubadde obutakuza mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agenda awali ensulo z'amazzi, n'asuulamu omunnyo, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amazzi gano ngafudde amalamu. Mu go temukyaddamu kuvaamu lumbe wadde obutakuza mmere.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'afuluma n'ajja awali ensulo y'amazzi, n'asuula omwo omunnyo n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mponyezza amazzi gano; temukyavaamu nate lumbe newakubadde obutakuza mmere.