2 Kings 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ava eyo n'ayambuka e Beteli. Bwe yali ng'atambula ng'ayita mu kkubo, abaana abalenzi ne bafuluma mu kibuga, ne bamusekerera nga bayeeya nti: “Kawalaata, yambuka! Kawalaata, yambuka!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'avaayo n'ayambuka n'agenda e Beseri: awo ng'ali mu kkubo ng'ayambuka abaana abato ne bava mu kibuga ne bamuduulira ne bamugamba nti Yambuka, ggwe ow'ekiwalaata; yambuka, ggwe ow'ekiwalaata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elisa n'ava e Yeriko, n'agenda e Beteli. Bwe yali ng'atambula mu kkubo, abavubuka abalalulalu ne bava mu kibuga ne bamusekerera nga bagamba nti: “Genda ggwe kawalaata, vva wano ggwe kawalaata!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'avaayo n'ayambuka n'agenda e Beseri: awo ng'ali mu kkubo ng'ayambuka abaana abato ne bava mu kibuga ne bamuduulira ne bamugamba nti Yambuka, ggwe ow'ekiwalaata; yambuka, ggwe ow'ekiwalaata.