2 Kings 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akebuka n'abalaba, n'abavumirira mu linnya ly'Omukama. N'evaayo eddubu bbiri mu nsiko, mu balenzi ne zitaagulamu amakumi ana mu babiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akyuka n’abatunuulira, n’abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo ebisolo ebinene bibiri eby’ekika eky’eddubu ne biva mu kibira ne bitaagulataagula abavubuka amakumi ana mu babiri ku bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akyuka n'abalaba n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Eddubu bbiri enkazi ne ziva mu kibira ne zitaagula abaana ana mu babiri (42) ku bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'akyuka n'atunula emabega n'abalaba, n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo eddubu bbiri ne ziva mu kibira, ne zitaagula abaana amakumi ana mu babiri ku bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akebuka n'abalaba n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Eddubu bbiri enkazi ne ziva mu kibira ne zitaagula abaana amakumi ana mu babiri ku bo.