2 Kings 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannakibiina ky'abalanzi ab'omu Beteli ne basemberera Elisa, ne bamugamba nti: “Omanyi ng'olwa leero Omukama ajja kusitula mukama wo amukuggyeko?” N'ayanukula nti: “Yee, mmanyi, naye mukisirikire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba bannabbi abaali e Beseri ne bajja eri Erisa, ne bamubuuza nti Omanyi nga olwaleero Mukama ajja kukujjako mukama wo amutwale? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Beteli ne batuukirira Elisa ne bamubuuza nti: “Omanyi nga Mukama olwaleero ajja kukuggyako mukama wo amutwale?” Elisa n'addamu nti: “Weewaawo mmanyi. Mmwe musirike!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba bannabbi abaali e Beseri ne bafuluma eri Erisa, ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'ayogera nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.