2 Kings 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'amugamba nti: “Sigala wano, kubanga Omukama ansindise e Yeriko.” Elisa n'amugamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, sijja kukuvaako.” Ne bagenda e Yeriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne bagenda bonna e Yeriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'amugamba nti Erisa, beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Yeriko. N'addamu nti Nga Mukama bw'ali omulamu, naawe nga bwoli omulamu, sijja kukuleka. Awo ne bagenda bombi e Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Elisa, nsaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye e Yeriko.” Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagenda e Yeriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'amugamba nti Erisa, beera wano. nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Yeriko. N'ayogera nti Nga Mukama bw’ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo ne bajja e Yeriko.